Psalms 95
1Mujje tuyimbire Mukama;tuyimbire waggulu n’essanyu nga tutendereza Mukama Olwazi olw’obulokozi bwaffe.
2Tujje mu maaso ge n’okwebaza;
tumuyimbire ennyimba ez’okumutendereza.
3Kubanga Mukama ye Katonda Omukulu;
era Kabaka Omukulu asinga bakatonda bonna.
4Enkonko ez’ensi ziri mu mukono gwe;
n’entikko z’ensozi nazo zize.
5Ennyanja yiye, kubanga ye yagikola;
n’emikono gye, gye gyabumba olukalu.
6Mujje tusinze tuvuuname mu maaso ge;
tufukamire mu maaso ga Mukama, Omutonzi waffe.
7Kubanga ye Katonda waffe,
naffe tuli bantu ab’omu ddundiro lye,
era tuli ndiga ze z’alabirira.
Olwa leero bwe muwulira eddoboozi lye,
8“Temukakanyaza mitima gyammwe nga bwe kyali e Meriba ▼
▼Meriba kitegeeza okwemulugunya
,ne ku lunaku luli e Maasa ▼
▼Maasa kitegeeza kugezesa
mu ddungu;9bajjajjammwe gye bangezesa;
newaakubadde baali baalaba dda ebyamagero bye nakola.
10Abantu b’omulembe ogwo ne mbasunguwalira okumala emyaka amakumi ana;
ne ŋŋamba nti, ‘Be bantu abakyama mu mutima gwabwe,
era tebamanyi makubo gange.’
11Kyennava ndayira nga nsunguwadde nti,
‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’ ”
Copyright information for
LugEEEE