Psalms 98
Zabbuli. 1Muyimbire Mukama oluyimba oluggya,kubanga akoze eby’ekitalo.
Omukono gwe ogwa ddyo,
era omukono omutukuvu, gumuwadde obuwanguzi.
2 Mukama ayolesezza obulokozi bwe,
era abikkulidde amawanga obutuukirivu bwe.
3Ajjukidde okwagala kwe okutakoma
n’obwesigwa bwe eri ennyumba ya Isirayiri.
Enkomerero z’ensi yonna zirabye
obulokozi bwa Katonda waffe.
4Muyimbire Mukama n’essanyu lingi mwe ensi yonna;
muyimbe ennyimba mu maloboozi ag’essanyu.
5Mutendereze Mukama n’ennanga ez’enkoba;
n’ennanga ez’enkoba n’amaloboozi ag’okuyimba,
6n’amakondeere n’eddoboozi ly’eŋŋombe.
Muyimbe n’essanyu mu maaso ga Mukama era Kabaka.
7Ennyanja eyire ne byonna ebigirimu,
n’ensi ne byonna ebigirimu bijaguze.
8Emigga gikube mu ngalo
n’ensozi zonna ziyimbire wamu olw’essanyu;
9byonna biyimbe mu maaso ga Mukama,
kubanga ajja okulamula ensi.
Aliramula ensi mu butuukirivu;
aliramula amawanga mu bwenkanya.
Copyright information for
LugEEEE