‏ Song of Solomon 2

1Ndi kimuli kya looza ekya Saloni,
Ekimuli kya Looza ekya Saloni kimera ekisangibwa mu nsenyi z’omu bukiikaddyo bwa Kalumeeri.

eddanga ery’omu biwonvu.
Owoomukwano 2Ng’eddanga mu maggwa,
gwe njagala ennyo bw’ali bw’atyo mu baweereza abakazi.
Omwagalwa 3Ng’omucungwa mu miti egy’omu kibira,
aŋŋanza bw’ali bw’atyo mu bavubuka.
Neesiima okutuula mu kisiikirize kye,
n’ekibala kye kimpomera.
4Yantwala ku kijjulo,
n’okwagala kwe ne ku mmaamira.
5Munzizeemu amaanyi n’ezabbibu enkalu,
mumbuddeebudde n’emicungwa
kubanga okwagala kunzirisizza.
6Omukono gwe ogwa kkono guli wansi wa mutwe gwange,
n’omukono gwe ogwa ddyo gumpambatira.
7Mmwe abawala ba Yerusaalemi, mbakuutira,
ng’empeewo n’enjaza ez’omu ttale,
temusisimula newaakubadde okuzuukusa okwagala
okutuusa nga kweyagalidde.

8Wuliriza omwagalwa wange,
Laba, ajja
ng’abuukirabuukira ku nsozi,
ng’azinira ku busozi.
9Omwagalwa wange ali ng’empeewo oba ennangaazi ento.
Laba ayimiridde emabega w’olukomera lwaffe,
Alingiza mu madirisa,
alabikira mu mulimu ogulukibwa ogw’omu ddirisa.
10Omwagalwa wange yaŋŋamba nti,
“Golokoka, Owoomukwano,
omulungi wange, ojje tugende,
11kubanga laba ttoggo aweddeko,
n’enkuba eweddeyo.
12Ebimuli bimulisizza,
n’ebiro eby’okuyimba bituuse,
era n’okukaaba kw’amayiba
kuwulirwa mu nsi.
13Omutiini
Emitiini mu Isirayiri gibala emirundi ebiri mu mwaka. Amakungula agasinga galingawo mu biseera ebya ttoggo
gubala ettiini zaagwo,
n’emizabbibu gimulisizza ne gibunya akawoowo kaagyo.
Golokoka Owoomukwano,
omulungi wange ojje tugende.”
Owoomukwano 14Ggwe ejjiba lyange, eribeera mu njatika ez’omu njazi,
mu bwekwekero obw’amayinja,
ndaga amaaso go,
ka mpulire eddoboozi lyo,
kubanga eddoboozi lyo ddungi nnyo,
n’amaaso go gasanyusa.
15Tukwatire ebibe,
obube obutono,
obwonoona ennimiro ez’emizabbibu,
kubanga ennimiro zaffe ez’emizabbibu zimulisizza.
Omwagalwa 16Muganzi wange, wange nzekka, era nange ndi wuwe;
aliisiza ekisibo kye mu malanga,
17okutuusa obudde nga bukedde
n’ebisiikirize nga biddukidde ddala;
okyuke omwagalwa wange obe ng’empeewo
oba ennangaazi ento ku busozi obw’e Beseri.
Copyright information for LugEEEE