‏ 2 Samuel 6:2-3

2N’agolokoka n’agenda n’abantu bonna abaali naye, okuva e Baale, Yuda, okuggyayo essanduuko ya Katonda eyitibwa Erinnya lya Mukama ow’Eggye atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka wakati wa bakerubi. 3Ne bateeka essanduuko ya Katonda ku ggaali empya ne bagiggya mu nnyumba ya Abinadaabu eyali ku lusozi, Uzza ne Akiyo batabani be ne bagikulembera
Copyright information for LugEEEE