Daniel 7:1-6
Ekirooto kya Danyeri eky’Ensolo Ennya
1 aMu mwaka ogw’olubereberye ogw’obufuzi bwa Berusazza kabaka w’e Babulooni, Danyeri n’aloota era n’ayolesebwa ng’agalamidde ku kitanda kye. N’awandiika byonna bye yaloota.2 bDanyeri n’ayogera nti, “Mu kwolesebwa kwange ekiro, nalaba empewo ez’omu ggulu nnya nga zisiikuula ennyanja ennene, 3 cn’ensolo enkambwe nnya ez’ebika eby’enjawulo ne ziva mu nnyanja.
4 d“Eyasooka yali mpologoma ng’erina ebiwaawaatiro eby’empungu. Awo bwe nnali nga nkyagitunuulira, ebiwaawaatiro byayo ne bigikuunyuukako, n’esitulibwa, n’eyimirira ku magulu abiri ng’omuntu, n’eweebwa omutima ogw’omuntu.
5 e“Ate ne ndaba ensolo enkambwe eyookubiri, eyali ng’eddubu. N’esitulibwa ku luuyi olumu era yalina embiriizi ssatu mu kamwa kaayo, n’eragirwa nti, ‘Situka olye ennyama nnyingi.’
6 f“Oluvannyuma ne ndaba ensolo enkambwe endala eyali ng’engo, ng’erina ebiwaawaatiro bina eby’ennyonyi, ng’erina n’emitwe ena, n’eweebwa n’obuyinza okufuga.
Copyright information for
LugEEEE