‏ Exodus 30:17-21

Ebbensani Omunaabirwa

17Awo Mukama n’agamba Musa nti, 18“Onookola ebbensani enaabirwamu nga ya kikomo ne ky’etuulako nga kya kikomo. Giteeke wakati w’ekyoto n’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu; osseemu amazzi. 19Alooni ne batabani be ge banaakozesanga okunaaba engalo zaabwe n’ebigere byabwe. 20Bwe banaabanga bagenda okuyingira mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, banaanaabanga amazzi, baleme okufa. Era ne bwe banajjanga ku kyoto okuweereza nga bawaayo eri Mukama ekiweebwayo ekyokye n’omuliro, 21banaanaabanga engalo zaabwe n’ebigere byabwe, baleme okufa. Kino kinaabanga kiragiro eky’olubeerera eri Alooni n’ezzadde lye emirembe gyonna.”
Copyright information for LugEEEE