Isaiah 14:2
2 aN’amawanga mangi galibayamba
okudda mu nsi yaabwe,
n’ennyumba ya Isirayiri ebeere n’abantu
abamawanga amangi mu nsi ya Mukama Katonda, nga baweereza baabwe abasajja n’abakazi.
Baliwamba abaali babawambye,
bafuge abo abaabakijjanyanga.