Micah 6:5
5 aMmwe abantu bange mujjukire
ekigendererwa kya Balaki kabaka wa Mowaabu
n’ebigambo, Balamu omwana wa Byoli bye yayogera.
Mujjukire bye nabakolera okuva e Sittimu okutuuka e Girugaali
mulyoke mumanye ebikolwa bya Mukama eby’obutuukirivu.”